Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 85 Yesu Atutuusizza Lyrics
1
Yesu atutusizza, ku Ssabbiiti endala.
Tusabe emikisa, Gye yaw(a) olunaku lwe;
Olusinga mu zonna, (e)kiwummulo kya Yesu,
Olusinga mu zonna, (e)kiwummulo- kya Yesu.
2
Tusaba ekisa kyo, Kituuke ku ffe leero.
Tulabe amaaso go, Tugyek(o) ebibi byaffe.
Tuwummulire mu Ggwe, mu kutegana kwaffe,
Tuwummulire mu Ggwe, mu kutega-na kwaffe.
3
Tuzze okukusinza, Beeranga kumpi naffe,
Tulag(e) ekitiibwa kyo, Nga tuli mu nnyumba yo,
Otuwe okulega ku mbaga yaffe eri,
Otuwe okulega ku mbaga ya-ffe eri.
4
Essanyu ly’enjiri yo, Lituggyemu ebibi,
Tubaleng(a) ebibala, Tuwony(e) ennaku yonna.
Buli Sabbiiti bwetyo, Okutuusa lw’olidda,
Buli Sabbiiti bwetyo, Okutuusa- lw’olidda.