Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 240 Katonda Musumba Wange Lyrics
1
Katonda- Musu-mba wange, Era- Ye andiisa:
Nze ndi- wuwe, naye- wange; Byonn(a) e-byange bibye,
2
Andis(a) o-muddo- (o)mulungi, Nziku-ta, mpummula;
Awa-l(i) emigg(a) emi-rungi, Anywe-sa lwa kisa.
3
Bwe nkyama- Ye a-nkomyawo, N’ang’u-mya omwoyo;
So si-Iwa bulungi- bwange, Lwa li-nnya lye lyokka.
4
Mu kiwo-nvu e-kyo kufa, Ndiyi-ta nga sitya;
Olu-gga lwe n’omu-ggo gwe, Bye bi-nankuumanga.
5
(O)kwagala- kwe o-kulungi, Kunaa-banga nange;
N’oku-tendereza- kwange, Kwo te-kulikoma.