Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 169 Yesu Alikungaanya Abantu Lyrics
chorus 1
(mu solfa, awali ……… nga ssi kasittale kakwafu,
towuuba, naye buli nnyingo gyatule)
1
Yesu aliku’nganya aba-ntu (O)kulabika mu maaso ge;
Ffe tuliba tutya musa-ngo, Bwalituyit(a) okuwoza?
chorus 2
Aliteek(a) e’ngano mu ggwani-ka, Alisuul(a) ebisu-su-nku;
Tu-liba tutya mu musa-ngo Ku lunaku olukulu?
2
Tulimuwulira ng’aga-mba, “Muddu omwesigwa weebale?”
Oba ffe tulitya nobulu-mi, Nga tugobwa mu maaso ge?
3
Alisanyukira abaana be, Ng’alaba be yanunula;
Alibambaza eby’omu ggu-lu, Balifukamira w’ali.
4
Ka tutunule ffe twekume-nga, Ettabaza nga zaaka nyo;
Awasa omugole bw’ali-jja, Twetegeke okugenda.
5
Ka tulowooze eby’omu ggu-lu, Tulindirir(e) ekiseera;
(Olugendo lwaffe bwerulikoma, Tulibeera mu maaso ge.