Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 163 Oba Ekiseera Kirituuka Lyrics
1
Oba ekiseera kirituuka ku kya
Okumasamasa kwe ne kulabika;-
Yesu ng’ajja n’ekitiibwa ekinene
Okututwala ewuwe.
chorus 1
Ayi Mukama, Olija ddi?
Tulab(e) amaaso go!
Yesu ajja, Aleruya
Aleruya! Amiina
Aleruya! Amiina.
2
Buliba mu ttuntu obla) eyo mu ttumbi, —
Tuliba tul(i) awo ngensi yonna, yonna; —
Efuuka omusana ogwaka ennyo,
Mukama ng’atuddu-kidde.
3
Bamalayika nga bayimba nesssanyu, —
Era nabanunule be bonna wamu —
Nekitibwa kye ekyakayakan(a) ennyo,
Mukama bw’alijja bw’atyo.
4
Tuligenda n’essanyu eteri kufa, – —
Teri ndwadde, Teri nnaku, terintiisa;
Tuliyita mu bire wamu ne Yesu,
Ng’atutwala ffe e-wuwe