Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 138 Nnakugoberera Yesu Lyrics
1
Nnaakugoberera Yesu, Yonna gy’onontwalanga;
Gy’ogenda nange nnaagenda, Yesu nkugoberere.
chorus 1
Nnaakugoberera Yesu, Ggwe eyanfirira nze;
Bonna ne bwebakuleka, Nze nnaakugoberera
2
Mu kkub(o) omuli amaggwa, Ezzibu ng’ennyaj(a) embi,
Ggw(e) eyansooka okugenda, Nnaakugobereranga.
3
Bwennaabonyabonyezebwa, Mu bikem(o) ebizibu;
Nzijukiza wakemebwa, Nsanyuke ngoberere.
4
Bwe nnaaba wano mu nnaku, Nga njabuliddwa bonna,
Ggw(e) eyayabulirwa bonna, Nze nnaakugoberera.
5
Bw’ontwala ku Yoludaani, Nsomoke amayengo,
Gw(e) eyansook(a) okusomoka, Siitye nnaagoberera.