Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 120 Awo Ku Musaaalaba Lyrics
1
Awo ku musalaba, Awali amazzi
Aganaaza ebibi, W’oba onkuumira.
chorus 1
Ku musaalaba gwe, Kwe nenyumiriza,
(O)kutuusa nga mpumudde, Muggulu ewaffe.
2
Okwo nze omunaku, Kwe nsanga eddembe;
Omusana gwa Yesu, Ne gunjakira nze.
3
Kwe nsanga Yesu wange, Ne yeeraga gyendi;
Nga ampa amaanyi ge, Gabeeranga mu nze.
4
Awo we nnabeeranga, Nga neesiga Yesu;
Alyoke annongose, Ye antuuse gy’ali.