Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 98 Mujje Eri Yesu Temulwawo Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 98 Mujje Eri Yesu Temulwawo Lyrics

 

1
Mujj(e) eri Yesu temulwawo, Atudde muffe wano leero,
Fenn(a) atuyita (o)kusembera, Agamba nti “Mujje!”

chorus 1
Ye atwagala, atwagala, Ye atwagala abonoonyi;
Era yajj(a) okutufirira, Ffe tutuuke gy’ali.

2
Mujje abazitoowereddwa, Mwenna abakooye n’ebibi,
Mujje mwenna nnaabawummuza, Mujje mwenna gyendi.

3
Abantu bonna kiyinzika, Leero (o)kusonyiyibwa ddala!
Kub(a) ebibi by’abakkiriza, Byatwalibwa Yesu.

Exit mobile version