Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 93 Enjuba y’Omwoyo Gwange Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 93 Enjuba y’Omwoyo Gwange Lyrics

 

1
Enjuba y’o-mwoyo- gwange, (O)mulokozi- gwe nja-gala,
Bw’abang(a) anjakir(a) obudde, Tebujja kunzibi-rira.

2
Emitawa-na e-gy’ensi, Girem(e) oku-nsiiki-riza;
(O)musana ogw’amaaso go, Okunziyiz(a) oku-laba.

3
Ngenda okwebak(a) e-kiro, Onkume mu kabi konna,
(O)mpaniririz(e) emikono gyo, Oneebase mu mi-rembe.

4
Enkya mu ttu-ntu, n’e-kiro, Era ne mu- bifobyonna,
Ggw(e) ayagala abaana bo, Beeranga nange, to-ndeka.

5
Jjanjaba a-balumw(a) ennyo, N’abatayinza kwebaka,
Wonya endwadde zaabwe bo, Obaggyek(o) obubi- bwonna.

Exit mobile version