Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 86 Twaniriza Sabbiiti Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 86 Twaniriza Sabbiiti Lyrics

 

1
Twaniriza Sabbiiti, Gye twaweebwa Mukama;
Twaniriza n’essanyu, Ekirab(o) ekikulu.

2
Ekiwummulo kyaffe, Eky’eddembe ly’omwoyo;
Kituwonya ennaku, Mu kutegana kwaffe.

3
Lunaku lutukuvu, Lwa kusinza Katonda
Lutuwa amagezi, N’emikisa mingi nnyo!

Exit mobile version