Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 84 Jjukira Olunaku Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 84 Jjukira Olunaku Lyrics

 

1
Jjukir(a) olunaku Yesu lwe yatuwa,-
Olusinga ennak(u) endala obulungi,
Lulina o-kuwummula okwomu-kisa,
Ogukka okuva mu ggulu eri- Yesu.

chorus 1
Twanirize, Twanirize
Ekiwu-mmulo,-
Twanirize, Twanirize
Ssabiiti nnungi

2
Ku lunaku luno tusinza Mukama,-
Eyatugamba nti “Nze kkubo n’obulamu”.
Bwe tumugo-berera (O)mulokozi- ku nsi,
Ddala alitunywesa (a)mazzi (a)g’obu-lamu.

3
Ku lunaku luno tumutendereza-
Era tusuuta Yesu, Mukwano gw’abaana.
Eri ab(o) a-bagudde, nga oli wa- kisa!
Ayi Mukama Yesu, tukwebaza- leero.

Exit mobile version