Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 74 Ggwe Omukuumi Mbuulira Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 74 Ggwe Omukuumi Mbuulira Lyrics

 

1
Ggwe omukumi mbuulira, Obudde buli kumpi?
(O)bubonero bw’okujja kwe, Bwo bwali bulabise?
Yesu alijja amangu, Emmambya yiiy(o) esala-;
Wesibe ebyambalo byo, Golokoka bukedde.

2
Omusana gweyongera, Okwaka mu kkubo lyo?
(O)bubonero buli wantu, Obulag(a) okujja kwe,
Ekondeere nga livuze, Banazuukuka wonna-;
Ababe bonna abaafa, Nga bambadd(e) ogutafa.

3
Omusana gujja mangu, Ssabbiti ya Jubiri,
Bonna boogera wamu nti, ‘Obwakabaka bujje’,
Wewaawo ow’oluganda, Kanaani yaffe ejja-;
Ne Yerusalemi kijja Nga kyakaayakana nnyo.

4
Lab(a) Ekibug(a) ekya zaabu, Kabaka ku ntebe ye,
Kabaka ow’ekitiibwa, Afuga ensi zonna.
Ku nsozi ezomusana, Ogwak(a) obulung(i) ennyo-;
Ku migga egy’ekitiibwa Egibunye (e)bimuli.

5
Ensi yaffe esembera, Ey’emirembe (e)nnungi;
Eri kumpi nga nnungi nnyo! Tunatuulanga omwo.
Wulira ennyimb(a) ennungi, Ziwulirwa mu bbanga-;
Abantu bangi bayimba, “Tunater(a) okutuuka.

Exit mobile version