Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 7 Mukama Gwe Ekifo Kyaffe Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 7 Mukama Gwe Ekifo Kyaffe Lyrics

 

1
Mukama Ggwe kifo kyaffe
Eky’okutuulamu,
Mu mirembe n’emirembe
Era Lwazi lwaffe.

2
(O)kuv(a) edda abatukuvu
Baakwesiganga Ggwe:
(O)mukono gwo gwabamala
Gunaatumala ffe.

3
Ensi nga tennatondebwa
Ebintu nga mpaawo,
Edda n’edda gwoba bumu
Katond(a) atavaawo.

4
Emyak(a) olukumi gyoli
Lwe lunaku lumu;
Gikulukuta ng(a) amazzi
Agayita (a)mangu.

5
Nebintu byonn(a) ebyomu nsi
Biyita bwe bityo,
Leero tuba nabyo, naye
Jjo nga biweddewo.

6
Mukama Ggwe kifo kyaffe
Eky’okutulamu,
Mu mirembe n’emirembe
Era Lwazi lwaffe.

Exit mobile version