Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 68 Nywereranga ku Katonda Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 68 Nywereranga ku Katonda Lyrics

 

1
Nywereranga ku Katonda wonna, Ne bwoba ng’oli mu kabi katya;
Oyo lwe lwazi lwaff(e) olw’amaanyi, Mu buli kabi ko-nna.

chorus 1
Leka tugumirenga ku Lwazi lwaffe,
Yesu Olwazi lwa-ffe;
Ffe bwe tuguma tuliyimirira, —
Mu maaso ge mu kitiibwa.

2
Wonna nywereranga ku kitufu, Ngoli mugumu mu kukkiriza
Oyo lwe Lwazi oluwanguza, Eggye lyonn(a) ery’omu-bi.

3
Wonna nywereranga mu mazima, Byonna byonna birituukirira,
Oyo lwe lwazi omul(i) eddembe, Nga tuwangudde e-nsi.

Exit mobile version