Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 66 Zuukuka Ggwe Mwoyo Lyrics
1
Zukuka gwe mwoyo gwange, Leeta amaanyi go;-
Engule Yesu gy’atuwa Yetaaga kwewaayo.
2
Ddoboozi lya Mununuzi Ngayita (a)baana be,-
Ye mugabi w’ebirabo Eri ggwe ne bonna.
3
Abajulirwa bangi nnyo Balaba by’okola,-
Byonna eby’edda bireke Ogende mu maaso.
4
Yesu Omwanjuzi waffe, Mu lugendo luno,-
Tube mu Ggwe, tuwangule, Tutuuke mu Ggulu.