Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 64 Laya Eng’ma Omukuumi Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 64 Laya Eng’ma Omukuumi Lyrics

 

1
Lay(a) e’ngoma omukuumi, Labula buli muntu;
Abawulira e’ngoma Beenenye balokoke.

chorus 1
Lay(a) engoma omukuumi, Bunyisa mu nsi zonna;
[wulira] Yesu bwatyo bw’ayagala Labul(a) abantu bonna.

2
Laya ku buli kasozi Na buli wantu wonna;
Obulokozi butuuke Mu bizinga by’ennyanja.

3
Mu bibuga ne mu byalo Ne mu gabira gonna
Bakoleze ettabaza Mukama ajja mangu.

4
Abasibibwa Setani Banafuna eddembe;
Omulokoz(i) atuyita Nokwagala nti “Mujje”.

Exit mobile version