Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 63 Bwendowooza Omusalaba Lyrics
1
Bwe- ndowoo-z(a) o-musala-ba Mu-kama- gwe ya-fiira-ko,
(O)bu-gagga- bwo-nna obw’e-nsi- Mbulaba nga te-bulii-mu.
2
Bwe- ndab(a) a-ma-zzi n’omu-saayi E-byava- mu mbi-riizi- ze,
Ne- ntegee-r(a) o-kusasi-ra- N’okwagala kwe- bwe ku-li.
3
Ye-su Mu-ka-ma onkuu-me, Ne-m(e) okwe-nyumi-riza-nga,
Ki-no kyo-kka-kinsanyu-se – Wanjagala n’o-nfii-ri-ra.
4
Si-nga mba-dde- n’ensi zo-nna, Ne nziwaa-yo Ye-su gy’o-li;
Zo-nna te-za-ndisasu-dde- (E)bbanja lyang(e) erye-nkan(a) a-wo.
5
Na-ye ky’o-ya-gala lee-ro, Era kye- ndeese- nz(e) e-ri Ggwe,
Kwe- kwaga-la kwange kwo-nna, Nku-weereze, nku-sanyu-se.