Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 61 Nina Mukwano Gwange Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 61 Nina Mukwano Gwange Lyrics

 

1
Nin(a) omukwano gwange, Omulungi ennyo,
Ye Yesu anjagal(a) ennyo, Era omwesigwa:
Njagala mbeerenga naye, Ng(a)ali kumpi nange,
Mbeera wamu ne Yesu, Ngali mu nze.

2
Era bwe mba nga nkoye, Kuba ye ammanyi,
Ampita okusembera, N’ampa amaanyi ge;
Ye antwala mu kkubo lye, (O)musana gwe gwaka,
Mbeera wamu ne Yesu, Ng’ali mu nze.

3
Mmulag(a) essanyu lyange, Awamu n’ennaku,
Mmulaga ne bye njagala, N’ebinnyiiza byonna;
Andaga ebinsaanira, A’ngamba ngezeeko,
Nnyumya wamu ne Yesu, Ng’ali mu nze.

4
Amanyi nga njagala, (O)kubuulir(a) ejiri,
Andaga bwe mba njogera Ebyo ebiyamba;
Eby’ekisa kye ekingi (E)kyamuleet(a) okufa:
Tukola fembi Yesu, Ng’ali nange.

Exit mobile version