Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 54 Ontegeeze Ebya Yesu Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 54 Ontegeeze Ebya Yesu Lyrics

 

1
Ontegeeze ebya Yesu, Ondage okwagala kwe,
Yesu mulokozi wange, Yanjagala nanfirira.

chorus 1
Yogera ku Yesu, Yogera ku Yesu
Yogera ku kwagala kwe,
Yes(u) Omulokozi wange.

2
Ontegeeze ebya Yesu, Ondage ye byayagala,
Era onjigirizenga, Okukola obulungi.

3
Ontegeeze ebya Yesu, Era leka nze mpulire,
Okusuubiza kwe kwonna, Kw’alina mu Kitabo kye.

4
Ontegeeze ebya Yesu, Kaakano ali ludda wa?
Obwakabaka bwe bujje, (O)mulangira w’emirembe.

Exit mobile version