Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 49 Nzuddeyo Ow’omukwano Lyrics
1
Nzuddeyo ow’Omukwano, Yasook(a) okunjagala,
Nampalula mu- kisa kye, Ekyakkirizisa nze,
Leero ndi muddu we naye, Abaddu be ba ddembe;
Nze ndi wuwe, na-ye wange, (E)mirembe nemirembe.
2
Nzuddeyo ow’Omukwano, Yaf(a) okundokola nze,
Kubanga obu-lamu bwe, Ye bwe yagabira nze;
Nze sirina kya bugagga, Ebyange bibye byonna;
Nneewaayo mu mi-kono gye, Mukwano gwange ddala.
3
Nzuddeyo ow’Omukwano, Yaweebw(a) amaanyi mangi;
Ge galintuusa- ewuwe; Sitya balabe bonna
Eby’eggulu mbirengera, Bimyansa nnyo nga ffeeza;
Nze kankole, nfu-be, nwane! Alidd(a) okumpummuza.
4
Nzuddeyo ow’Omukwano, Mulungi ow’ekisa;
Angabira ku- maanyi ge, Annu’gamy(a) er(a) andiisa
Ebiriwo n’ebirijja, Tebirinjawukanya;
(E)mirembe egi-taggwawo, Yesu mukwano gwange.