Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 48 Nkwagala Ggwe Ayi Yesu Lyrics
1
Nkwagala Ggwe ayi Yesu, Okusinga byonna!
Kubanga wampa eddembe, Erising(a) ery’e-nsi.
chorus 1
Nga tekutegerekeka, (kwagala),
(O)kwagala kw’olina;
Era nga tegutendeka (musaayi),
(O)musaayi gwo Yesu! (musaa-yi gwo!)
2
Manyi ng’oli kumpi nange, Okusinga ensi;
Ebigambo byo biwonya, Obulumi mu-nda.
3
Wateeka essanyu mu nze, Ka nsanyukenga nnyo;
Singa tewa’ngumya (o)mwoyo, Nandiraby(e) enna-ku.
4
Ayi Mulokozi wange, Eyo ndibeera ntya!
Obanga essanyu lyompa, Linsanyusa ku- nsi?