Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 46 Bwe Ntuula Awali Ebigere Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 46 Bwe Ntuula Awali Ebigere Lyrics

 

1
Bwe ntul(a) awal(i) ebigere, Bya Yesu ansanyusa;
Njagala okuba naye, Mpulir(a) ebigambo bye
Bwe mbeera awamu naye, Ndowoz(a) ebikolwa bye
Okwagala kw(e) okunene, Okwansembeza w’ali.

2
Awali ebigere bye, Kye kifo ky’omwonoonyi
We nzisa ebibi byange, Era we mpummulira.
Awali ebigere bye, Nfuk(a) okusaba kwange
Era olwekisa kye Ye, N’ampa okuwummula.

3
Yesu ompe omukisa, Nga nkyali mu maaso go;
Ntunulira n’ekisa kyo, Ondage amaaso go.
Ompe omutima gwo Ggwe, Mbe mutukuvu nga Ggwe;
Neerage nga ndi mwana wo, Ggw(e) ampa obutukuvu.

Exit mobile version