Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 43 Nsanyukira Obulamu Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 43 Nsanyukira Obulamu Lyrics

 

1
Nsanyukira obulamu bwange,
Bwe mbeera awamu ne Yesu;
Omukisa gyendi n’emirembe,
Bwe mbeera awamu ne Yesu.

chorus 1
Nywera, Nywera, (nyweranga, nywera)x2
Owangule mu linnya lye;
Nywera, Nywera, (nyweranga, nywera)x2
Ng’oli awamu ne Mukama.

2
(E)kkubo lye lireeta (e)ssanyu lingi,
Kubanga atukulembera.
Omusana gwe gwaka bulijjo,
Kubanga atukulembera.

3
Kintu ki ekiyinz(a) okuntiisa,
Bwe mbeera awamu ne Yesu?
Mbeera neddembe lingi bulijjo,
Bwe mbeera awamu ne Yesu.

Exit mobile version