Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 42 Omwoyo Owa Katonda Lyrics
1
Omwoyo owa Katonda, Wulir(a) abaana bo;
Ofuule emyoyo gyaffe, Ekifo mwobeera.
2
Beera mu ffe maanyi mangi, Tube bawanguzi;
Tukuz(a) emitima gyaffe, Nga saddak(a) ennungi.
3
Twakiz(a) omusana tuwe, Amazima gonna;
Yoles(a) ekkubo efunda, Lye tuba tukwata.
4
Tonyesa ku ff(e) omukisa, Mu ssaaw(a) entukuvu;
Buli omu anafuye, Aweebwe amaanyi.
5
Jangu nga empewo leero, Pentekote yaffe;
Jangu obulokozi bwo, Bubune ku ns(i) eno.