Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 38 Ka Nnyimbe Ku Buyinza Lyrics
1
Ka Nnyimbe ku buyinza bwo, Katonda wa byonna;
Ennyanja zakolebwa Ggwe, Awamu n’ebbanga.
Nebaza obuyinza bwo, Obwas(a) omusana,-
Ggwe olagira omwezi, N’emmunyeenye zonna.
2
Nebaza obulungi bwo, Ggwe atuwa emmere;
Essanyu nebintu byonna, Era birungi nnyo,
Emirimu gyo mikulu Mu bantu bo bonna,-
Bwendowooza ensi eno, Era n’eggulu lyo.
3
Buli kintu kyonna ku nsi, Kirag(a) amaanyi go;
Ebbanga ne kibuyaga Ggwe obiragira,
Obulungi buva gyoli, Byonna Ggw(e) obikuuma,-
Era buli kintu kyonna, Kiri mu maaso go.