Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 36 Nalyoka Ne Nkusenga Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 36 Nalyoka Ne Nkusenga Lyrics

 

1
Nalyoka ne nkusenga Ggwe, Omulokozi Katonda;
Kye nvudde nsanyuka nnyini, Ne njatula bwe nsanyuse.

chorus 1
Nsanyuse, nsanyuse; Yesu yannazaak(o) ebibi;
Y(e) anjagaza by’ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna;
Nsanyuse, nsanyuse, Yesu yannazaak(o) ebibi.

2
Namusenga n’atangoba; Nze ndi wuwe naye wange;
Yampita ne nditegeera, (E)ddoboozi lye nga lya Yesu.

3
Edda nasagasagana, Kakano nteredde ku Ye;
Sikyamusenguk(a) alina, Mukama y’alina byonna.

4
Nalayira nti ndi wuwe, Kankyogerenga bulijjo,
Era bw’olijja Mukama, Ndisanyuk(a) okub(a) owuwo.

Exit mobile version