Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 35 Nsanyuka Okuyimba Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 35 Nsanyuka Okuyimba Lyrics

 

1
Nsanyuka okuyimba nti, “Yesu Yannunul(a) olwokufa kwe,”
Mu kwagala kwe yannunula, Ndi wuw(e) emirembe gyonna.

chorus 1
Yannunula, Yannunul(a) olw’okufa kwe,
Yannu-nula,- — Ndibeera naye bulijjo.

2
Yannunula nsanyuka mu Ye, Essanyu lyange lingi nnyo,
Nga ndaba nti omusana gwe, Gunabanga munda yange.

3
Buli kaseera konna konna, Ndowooza ku Mulokozi,
Era olw’essanyu nennyimba, Ku kwagala kwe okungi.

4
Lunaku lwe bwe lulituuka, Ndiraba Kabaka wange,
Ankuuma mu lugendo lwange, Asanyus(a) omwoyo gwange.

5
Manyi ng’antegekedd(e) engule, Mu nnyumba y(e) ey’omu ggulu,
Bw’alimala okunnongoosa Ndibeera naye bulijjo.

Exit mobile version