Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 34 Ontegeeze ku bya Yesu Lyrics
1
Ontegeeze ku bya Yesu, Mbinywereze ku mwoyo;
Ebyo bising(a) obulungi Byonn(a) eby’omunsi muno,
Bamalayika baayimba Yesu bwe yazaalibwa;
Katond(a) aweebwe (e)kitibwa, (E)mirembe gi-be mu nsi.-
chorus 1
Ontegeeze ku bya Yesu, Mbinywereze ku mwoyo;
Ebyo bising(a) obulungi, Byonn(a) eby’omu nsi muno.
2
Bwe yabeera mu lukoola, Mu nnaku ezo zonna;
Bwe yakemebwa Setaani, Era bwe yawangula,
Mbulir(a) ebyomulimu gwe, Nebyennaku ze zonna;
Bwe yabonyabonyezebwa N’anyomebwa- abantu.-
3
Mbulir(a) eby’omusalaba, Bwe bamukomerera;
Ne bamuziika mu ntaana, N’azukira mu bafu.
Okwagala kwe (o)kunene, Tunakwenkanya na ki?
Kale ka nnebaze Yesu, Mukama ya-nnunula.-