Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 31 Ka Nnyimbe ku Kwagala Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 31 Ka Nnyimbe ku Kwagala Lyrics

 

1
Ka nnyimbe ku kwagala
Kwa Yesu (e)yanjagala:
Eyava mu ggulu lye,
Okufa ku lwange nze!

chorus 1
Ka nnyimb(e) okwa-gala kwe,
Nnaakute-nde-rezanga
Eyatti-bwa ku lwange,
Nneebaza eki-sa kye.

2
Yesu ye yanjagala
Nze nga si-nnamwagala,
Nga sinna-mukowoola
Yeyasook(a) okunoonya.

3
Okwaga-la kwo Yesu,
Tekute-geerekeka:
Nz(e) atali-na kalungi,
Lwaki wanjagala nze?

4
Yesu ye-raga gyendi,
Siyinza kumugaana
Okwaga-la kwe gyendi
Nange kumpaliriza.

Exit mobile version