Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 3 Aweebwe Ekitiibwa Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 3 Aweebwe Ekitiibwa Lyrics

 

1
Awebw(e) ekitiibwa Katonda waffe;
Yayagal(a) ensi n’awaay(o) Omwana we,
Yafuuka saddaaka y’ekibi kyaffe;
Naggulaw(o) oluggi ffe tuyingire.

chorus 1
Tumutendereze, Ensi ewulire;
Tuyimbe tuyimbe, Ensi esanyuke;
Mujj(e) eri Kitaffe mu Mwana Yesu;
Aweebw(e) ekitiibwa yatununula.

2
Twanunulibwa twagulwa musaayi;
Kisuubizo eri buli akkiriza;
Omubi lukulwe amukkiriza,
Asonyiyibwa ebibi bye byonna.

3
Atuyigirizz(a) ebikulu bingi,
N’essanyu lingi lyatuwa mu Yesu;
Oyo Mutukuvu mugulumivu,
Kiriba kisuffu nga tumulabye.

Exit mobile version