Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 243 Bwetulituuka Mu Ggulu Lyrics
1
Bwetulituuka mu ggulu netwegatta wamu, Tuliyimba ku kwagala kwa Yesu gyetuli;
Nga tuyise mu milyango giri egya zaabu, Fenna aba-nunulibwa tuliyimba wamu.
chorus 1
Ssanyu [ssanyu], Ssanyu [ssanyu], Yesu ali- kumpi (ddala)
Ddala atwagala (Yesu), (E)ddoboozi lye ddungi (gyendi)
Era [era], lumu [lumu] Tulisisinkana [naye]
Netuyimba ku kwagala kwe Yesu gyetuli.
2
Eyo tuliba mu ssanyu ery’olubeerera, Nga tutendereza Yesu olw’obuwanguzi;
Tulituuka ku mugga guli ogw’obulamu, Tewaliba- nnaku wadde okukaaba kwonna.
3
Tuliraba tulimanya buli kintu kyonna, Tutambule mu nnimiro nga tulaba Yesu;
Mu kutendereza n’ennang(a) ezakolwa zaabu, Yesu ali-tikkirwa engule nga Kabaka.
4
Tetulizimba nnyuba netutazisulamu; Tetulisimba mmere omulala n’agirya;
Naye tulibanga wamu n’omwagalwa waffe, Nga tumweba-za olw’okutuwa obulamu.