Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 241 Akimanyi Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 241 Akimanyi Lyrics

 

1
Simanyi binambaako, Katond(a) abinkweka;
Nga ntambula ngenda mu maaso, Andaga e-bipya,
Era buli ssanyu lyampa, Kibeera kyewuunyo.

chorus 1
Ka mmu-gobererenga, Mmwesi-ge sityenga;
Buli ssaawa mmuyimbira, Ekyo akimanyi-
Buli ssaawa mmuyimbira,- – – Ekyo akimanyi.

2
Eby’okumpi byendaba, Byokka byenetaaga;
(O)musana gwe ggulu gwaka nnyo, Ng(a) eby’ensi bi-genze;
Era mmuwu-lir(a) ang’amba – “Ngoberera totya!”

3
Kirung(i) obutamanya, Kya mukisa gyendi;
Ankwata ku mukono gwange, Tayinza ku-ndeka,
Awummuz(a) o-mwoyo gwange, Er(a) anjagala nnyo!

4
N’olw’ekyo ng’enda naye, Sikola kirala;
Mu bizibu nga ndi ne Yesu, Kinsingir(a) e-ssanyu,
Ka mmukkiri-ze mmwesige, So si maaso gange.

Exit mobile version