Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 234 Mu Ssanyu N’okumwebaza Lyrics
1
Mu ssanyu n’okumwebaza, Nyimus(a) eddoboozi lyange;
Nnaayimba ntya okwagala Kwa Yesu okw’ekitalo.
chorus 1
Kwagala kwo, kwa kitalo, Okwagala kwo Ye-su,
Kwagala kwo, kwa kitalo, Okwagala kwo Ye-su.
2
Emisan(a) era n’ekiro, Mu muyaga, mu nzikiza;
Mu bulumi, mu bunafu, Nnaayimbang(a) okwagala kwo.
3
Bwenasabang(a) onsonyiwe, Bwenagwanga onsitule;
Mu bulamu ne mu kufa, Nnaayimbang(a) okwagala kwo.