Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 231 Kristo Oba Balabba Lyrics
1
Nakola ntya Yes(u) ono, (O)mulokozi wange?
Ayambadde (e)fulungu N,engule (e)y’amaggwa?
chorus 1
(E)kibuuzo kye kino, (E)ky’okuddamu kiki:
Nkomerere Yesu Kri-sto, Balabba ateebwe?
2
Nnaalek(a) omubb(i) agende, Omunt(u) owekibi?
Oba Krist(o) Oyo Yesu, atalina kibi?
3
Kibuuzo nga kikulu! Kizibu nnyo ddala!
Ekisakye nga kingi, Nzenna kinkankanya!
(E)nkomerero ng’etuuse Ens(i) ery’egaan(a) etya?
(E)bigambo nti, “Twala eri, Twal(a) okomerere!”
5
(O)mukristayo wulira, era n’omwonoonyi,
Ekibuuz(o) eky’entiisa, onokiddam(u) otya?
chorus 2
(E)Kibuuzo kye kino, (E)ky’okuddamu kino:
Kankomerere Balabba, Yesu Krist(o) ateebwe.