Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 230 Yogera Nange Yesu Lyrics
1
Yogera nange Yesu mu ddobooz(i) eddungi,
Mpulire ng’ong’amba nti, “Guma toli wekka.”
Nnongoosa omutima mpulir(e) eddoboozi,
Nyimbeng(a) amatendo go, Nsanyukire mu Ggwe.
chorus 1
Ontegeeze n’ekisa, Mu kisa ky(o) ondage
Nti mu Gggwe ndiwangula, Ndifuna eddembe,
Ontegeeze kakano, Mu kisa kyo (e)kingi;
Mpulire bw’ong’amba nti “Guma toli wekka”
2
Tegeez(a) ababo bonna Balag(e) ekkubo lyo;
Obajjuz(e) essanyu lyo Bayig(e) okusaba.
Bawengay(o) obulamu Bwabwe bonna gy’oli,
Bakol(e) omulimu gwo (O)kutuusa lw’olijja.
3
Mukama mbikkulira Nga banabbi (a)b’edda,
Kye nsana okukola Ntuuse (a)mateeka go;
Ka nkugulumizenga, Nate ka nnyimbenga,
Nkolenga by’oyagala, Nkutenderezenga.