Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 226 Mukama Omulokozi Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 226 Mukama Omulokozi Lyrics

 

1
Yesu ye Mulokoz(i) ow’ekitalo, (O)mulokoz(i) eyewuunyisa;
Akwek(a) obulamu bwange mulwazi, Mwendab(a) emigg(a) egy’essanyu.

chorus 1
Akwek(a) obulamu bwange mu Lwazi;
(E)kisiikirize mu ddungu,
Ankweka mu kwagala kwe okungi
(N’ankuuma n’omukono gwe.) x2

2
Yesu ye mulokoz(i) ow’ekitalo, Aggyaw(o) omugugu gwange;
Ampanirira n’esinyenyezebwa, Ampa amaanyi bulijo.

3
Ampa emikisa buli kiseera, Anzijuz(a) ekitiibwa kye;
Ndiyimba nga nzuukidde mu kitiibwa, Ku Mununuz(i) omwagalwa.

4
Bwendyambazibwa obutukuvu bwe, Mmusisinkane ku bire;
Ndiyimba n’abanunule abangi, Ku bulokoz(i) obwekisa.

Exit mobile version