Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 218 Nnyigiriza Okutuuka Lyrics
1
Nnyigiriza okutuuka, Ku ntikko y’okukkiriza
Nga nsaba ng’ende mu maaso, Mukama ntuusa mu ggulu.
chorus 1
(O)Nsitula onnyimirize, Mu kibug(a) eky’omuggulu;
Kyenjagala ekisinga, Mukam(a) ontuuse mu ggulu.
2
Seegomba kubeera wano, (O)kubuusabuusa n’okutya;
Wadd(e) abamu bali mu byo, Mukama ntuusa mu ggulu.
3
Njagala mbere mu ggulu, Wadde Setaan(i) anwanyisa;
Mpulidde ennyimb(a) ennungi, Ng’abo’mu ggulu bayimba.
4
Ndubirir(a) okutuuk(a) eyo, Mu kwakaayakan(a) okungi;
Nze kye nsaba ontuus(e) eyo, Mukama ntuusa mu ggulu.