Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 212 Engoye Enjeru Lyrics
1
Tulitambula naye, Mu nsi ey’omu-sana,
Ekiro gyekitayingira; Omusana bulijjo
(O)gwakir(a) abanu-nule, Kye kitiibwa ky’Omulokozi.
chorus 1
(E)ngo – ye (e)njeru -x2 [Ngoy(e) enjeru x4]
Tulyambala ngoy(e) enjeru
(E)ngo – ye (e)njeru – X2 [Za kitiibwa x2 Zeyagaza x2]
Tuliyita ne Yesu, Nga twambadde e-byeru.
2
Tulitambula naye, Tulabe ens(i) e-nnungi,
Tulabe Kabaka w’eggulu, Tulinyumya ne Yesu.
Mbozi empome-revu, Tuyimbe ennyimb(a) ez’essanyu.
3
Tulitambula naye, Ku mugg(a) ogw’obulamu
Nga Yesu atukulembedde, Ngatunaaziddw(a) ebibi
Tutukulidde- ddala; Tuliba babe lubeerera.