Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 209 Nga Ntuuse Eka Lyrics
1
Ndyambal(a) engule ya zaabu mu ggulu;
Nditikkulw(a) omugugu nga ntuus(e) eka;
Ndyambazibw(a) ebyeru, Ndiyimb(a) oluyimba
Olwobulokozi Nga ntuus(e) eka.
chorus 1
([Nga ntuus(e) eka ]x2
Ennaku yange yonna, Eriggwawo.)x2
2
Ekizikiza kyonna kiriggwawo
Ndirab(a) ekitangala nga ntuuse eka,
(O)musana gw’e ggulu, gummulise wonna
Gunkulembere nze ntuuke eka.
3
Ndirab(a) amaaso ga Yesu nga ntuuse
Nnyimbe ku kisakye ekyandokola
Nnyimirire waali, Mu ssanyu mmusinze
Emirembe gyonna – nga ntuus(e) eka.