Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 206 Baibuli Ebikukkulirwe Ensi Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 206 Baibuli Ebikukkulirwe Ensi Lyrics

 

1
Baibul(i) ebikkulirw(e) ensi! Kyekigendererwa kyaffe!
Amazima gabikkulwe, Gasaasaanye emikisa.

chorus 1
Kigambo kye-(Kya mukisa)
Kibunyise —(Musana gwe)
Ku lukalu ne ku nnyanja-
Abali mu kizikiza- Kibazze eri Katonda.

2
Wonna Baibuli wetuuka – – Eyas(a) amusana gwayo;
Egoba ekizikiza, N’amaany(i) agekibi gonna.

3
Erag(a) abantu Kitaffe – – Oy(o) ajjudde okwagala;
Aboonoonyi mu Adamu, Ebaw(a) essuubi mu Yesu.

4
Etegeeza ebya Yesu, – – Eyaf(a) atuw(e) obulamu;
Era bonn(a) abakkiriza, Baba baana ba Katonda.

Exit mobile version