Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 204 Okuva Lweyajja Mu Nze Lyrics
1
Nga nafun(a) Okukyusibwa mu bulamu, Okuva lweyajja mu nze!
Nin(a) ekitangaala kyendudde nga nnoonya, Okuva lweyajja mu nze.
chorus 1
Yesu yajja mu mutima –[gwange], Yesu yajja mu mutima – [gwange],
Nzijudd(e) essanyu lingi mu mwoyo gwange;
Okuva lwe yajja munze.
2
Nakoma okubulubuuta mu ns(i) eno; Okuva lwe yajja munze,
N’ebibi byange byonna byasangulibwa; Okuva lwe yajja mu nze.
3
Nnin(a) essuub(i) eddamu ery’olyolubeerera; Okuva lwe yajja munze,
Sirina kubuusabuusa kwonna munze Okuva lwe yajja munze.
4
Nnin(a) essuubi okub(a) omulamu nate; Okuva lwe yajja munze,
Era nnengera emiryango gye ggulu; Okuva lwe yajja munze.