Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 200 Nsanyukira Ekigambo Kino Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 200 Nsanyukira Ekigambo Kino Lyrics

 

1
Nsanyukira ekigambo kino,
Yesu Mukama atwagala nnyo;
Birimu bingi ebinsanyusa,
Eky(o) ekisinga nti “Nze nkwagala.”

chorus 1
Anjagala, Ye anjagala, Kya kital(o) Okunjagala!
Anjagala olw’ekisa kye, Nang(e) era mwagala.

2
Bwemba nnyonoona ne mwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala;
Ampita mangu (o)kumweyuna Ye,
Er(a) anjjijukiz(a) olwagala kwe.

3
Bwe nditunulir(a) ekitiibwa kye,
Ndiyimba ntya bwe siyimba bwentyo?
Nnyimba emirembe n’emirembe,
Yesu kik(i) ekyakunjagaza nze?

4
Anjagala era mmwagala Ye;
Yakka mu ns(i) olw’okutufiirira;
(O)kwagala kwamuleeta ku muti
Yesu atwagala ffe bwagazi.

Exit mobile version