Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 191 Ka Mpummulirenga Wano Lyrics
1
Ka mpummulirenga wano,
Okumpi ne Yesu,
Ensonga y’essuubi lyange,
Yesu yanfiirira.
2
Omulokozi eyafa,
Ensulo ennaaza;
Okummalako ekibi,
Nnaaza mu musaayi.
3
Ntukuza mbere owuwo,
Si bigere byokka;
Naye nnaaza n’emikono,
(O)mutwe n’omutima.
4
Ssaddaaka y’omusaayi gwo,
Ennongoose nzenna;
Okutuusa lwe ndiraba
Gwennakkiriz(a) Oyo.