Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 190 Tubatize Buggya Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 190 Tubatize Buggya Lyrics

 

1
Tufukeko (O)mwoyo (O)mutukuvu
Ajje ku ffe leero atuzze buggya.

chorus 1
Tukusaba, Yes(u) emitima gyaffe,
O-gizze obuggya – – Olw’ekisa kyo.

2
Ffen(a) abalin(a) ebibi, tunaaze,
Tufuuke abantu abaggya leero.

3
Jjangu Omwoyo Omutukuvu,
Kka ku ffe nga bwe wakka ku Mukama.

4
Ka tuwulire eddoboozi lye,
“Ggwe mwana wange gwe njagala ennyo.”

chorus 2
Tukwebaza Ggwe, Omwana gw’Endiga,
Lee-ro tubatize, – – Buggya – Amiina.

Exit mobile version