Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 185 Ggwe Okwagala Okunene Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 185 Ggwe Okwagala Okunene Lyrics

 

1
Ggwe Okwagala, Okusukkiridde,
Tufukamidde nga tukusaba,
Obaw(e) okwagal(a) okutakoma,
Abagole boogass(e) olwa leero.

2
Baw(e) obulamu obutuukiridde,
Obw’okwagala n’okukkiriza;
Bawe essuubi, Bagumiikirize,
N’obwesige Obutatya kabi.

3
Bawe essanyu, Mu nnaku ey’ensi,
Baw(e) emirembe, Mu buli mbeera;
Enkya ennungi, Bagisuubirenga,
Nti lumu olidd(a) okubanona.

Exit mobile version