Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 184 Okwagala Mu Maka Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 184 Okwagala Mu Maka Lyrics

 

1
Okwagala we kuba tewaba nnaku;
Amaka ag’ekisa gajjul(a) essanyu;
Buli wantu nga ddembe,
Mboozi empomerevu,
Liba ssanyu jjerere, Mu maka gaffe.

chorus 1
(O)kwagala mu maka,
Liba ssanyu jjerere,
Mu maka gaffe.

2
Mu nju libeera ssanyu, Olw’okwagala,
Mu ggulu basanyuka, Olwokwagala;
Wonna wonna mu nnyumba,
Nga wajjudde essanyu,
(O)bulamu busanyusa, Mu maka gaffe.

3
Ne Yesu asanyuka, Nga twagalana,
Okukyaawa n’obuggya tebibeeerawo;
Maka agaagalana,
Gabeera ga muwendo;
Goolesa obulungi, Obwa Kitaffe.

4
Yesu nfuula owuwo, Mbe n’okwagala,
Er(a) olwa saddaka yo, nfuula omuggya:
Ggwe omponye mu bubi,
Ompummulize mu Ggwe,
Ompe omukisa gwo, Mu maka gaffe.

Exit mobile version