Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 175 Omulokozi Ndimulaba Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 175 Omulokozi Ndimulaba Lyrics

 

1
(O)mulokozi ndimulaba, Ddala kiriba kitya!
Bwe ndirabagana noyo, Yesu eyanfiirira?

chorus 1
Ndimulaba mu kitiibwa, Bw’alijjira ku bire;
(A)maaso n’amaaso Mukama, Ndimulaba yennyini!

2
Siyinza okumulaba Olwenzikiza y’ensi;
Naye olunaku lujja, Ndabe ekitiibwa kye!

3
Tulijaguza nnyo nnyini, (E)nnaku nga ziweddewo;
Ensobi nga zigoloddwa, Tulibeera mu ddembe;

4
Tuliba basayufu nnyo, Okumutunulako,
Yesu (O)mununuzi waffe, Kri-sto atwagal(a) ennyo!

Exit mobile version