Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 174 Tetumanyi Ssaawa Lw’alijja Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 174 Tetumanyi Ssaawa Lw’alijja Lyrics

 

1
Tetumanyi ssaawa lw’alijja, Mu ttuntu oba mu ttumbi,
Ku makya oba kawungezi, Atugamba tutunule!
Twetegekere okudda kwe, (E)ttabaza zaffe nga zaaka,
Lwalidd(a) alyok(e) atusange ffe, Nga tumulindirira nnyo

chorus 1
Nga tutunula,
Nga, tumulinze;
Nga tutunula,

(Nga tutunula nga tulinda Ye) x3
Nga tulindirira Yesu.

2
Lowooza ekisa ky(e) ekingi, Nomuwendo gwe yawaayo;
Yalek(a) ekitiibwa kye ggulu, Najja okufa ku lwaffe;
Ndowooza kimusanyusa nnyo, Ng’alaba beyanunula;
Nga beetegeker(a) okudda kwe, Nga balinda, batunula.

3
Yesu Omununuzi wange, Omanyi nga nze nkwagala,
Era nsuubir(a) okukulaba, Mpulire eddoboozi lyo;
Bwolija nga Omulamuzi, Nga abamu bakudduka,
Nze ndikwaniriz(a) Omwagalwa, N’essanyu mu ssaawa eyo.

Exit mobile version