Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 173 Tetumanyi Ssaawa Lyrics
1
Tetumanyi ssaawa ya kudda kwa Yesu; Nay(e) obubonero bulaga etuuse!
Yes(u) akomewo, nga bweyatusuubiza – Tetumanyi ssaawa.
chorus 1
Alijja – Tutunule twetegeke: Alijja – Aleruya, Yesu ajja!
Ajjira mu bire, mu kitiibw(a) eky’eggulu – Tetumanyi ssaawa.
2
Ffe abaana be yatuwa omusana, Omusana ogwo guli mu Kigambo;
Obunabbi butulaga ali kumpi – Tetumanyi ssaawa.
3
Ka tutunule twasenga ettabaaza, Ka tukole nnyo nga tulind(a) okujja kwe;
Tulisanyuka, tuyimbe olw’essanyu – Tetumanyi ssaawa.