Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 168 Nga Bayita Amanya Gaffe Lyrics
1
Bwe bafuuw(a) eng’ombe ya Yesu ng’ajjira ku bire
Ku lunaku olw(O) olwekitalo ennyo;
Abatukuvu abali mu nsi bwe bakung’ana,
Nga bayita amannya nange ndibaawo!
chorus 1
Chorus:
(Nga bayi – t(a) amannya ga – ffe, x3
(Nga bayit(a) amannya gaffe muggulu)x2
(Nga bayit(a) amannya ga-ffe)
Nga bayit(a) amannya nange ndibaawo.
2
Tuliraba abafu mu Kristo nga bazuukira,
Baliweebw(a) ekitiibwa kya Katonda;
Abalonde be bwe balikungaanira mu ggulu,
Nga bayita (a)mannya nange ndibaawo.
3
Ka tukolere Mukama buli kiseera kyonna, nange ndibaawo.
Ka tubuulire abantu ku Yesu;
(O)mulimu gwe nga guwedde nga azz(e) okutunona,
Nga bayita (a)mannya nange ndibaawo.