Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 167 Yesu Mukama Omulokozi Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 167 Yesu Mukama Omulokozi Lyrics

1
Yesu Mukama Omulokozi, Yajja mu nsi okunoony(a) ababi;
Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajj(a) okunoonya nze.
Yajj(a) okunoonya nze, Yajj(a) okunoonya nze.
Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajj(a) okunoonya nze.

2
Yesu Mukama Omulokozi, Bwe nali mu nvuba ya Setani,
Yannunula nomusaayi gwe ye, Yesu yanfiirira.
Yesu yanfiirira, Yesu yanfiirira
Yannunula nomusaayi gwe ye. Yesu yanfiirira.

3
Yesu Mukama Omulokozi, Bwe nali nga nvudde mu kkubo lye,
Yankowoola nokusaasira kwe, Yesu yampita nze.
Yesu yampita nze, Yesu yampita nze.
Yankowoola nokusaasira kwe, Yesu yampita nze.

4
Yesu Mukama Omulokozi, (E)kigambo kino kye kinsanyusa,
Ndimulaba lw’alijja n’ebire, Okuntwal(a) ewuwe.
Okuntwal(a) ewuwe, Okuntwal(a) ewuwe.
Ndimulaba lw’alijja n’ebire, Okuntwal(a) ewuwe.

Exit mobile version